Amazaalibwa ga Kyabazinga, asiimye abasoga olw’okulaga obumu
Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Gabula Nadiope ii asiimye abantu be Busoga olw’obumu bwebalaze , kko n’okuwagira emirimu gy’obwa Kyabazinga,ekiyambe Busoga okutambula ng’edda ku ntiko. Bino Kyabazinga abyogeredde ku kabaga akaategekeddwa mu lubiri lwe Igenge mu Jinja okumujagulizaako okuweza emyaka 36 egy’obukulu.Ku mukulo guno ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ki FUFA era kwekyamukwasiriza tiimu ya Busoga United nga kakano yafuuse tiimu ya bwa kyabazinga mu butongole.