Janet Museveni asabye abakyala okuba eky’okulabirako eri abaana
Omukyala w’omukulembeze we ggwanga Janet Katana Museveni asabye abazadde naddala abakyala okuba eky’okulabirako eri abaana baabwe mu nkuza, okusobola okutumbula ekitiibwa kya Africa. Agamba keekadde okusomesa abaana okwagala ensibuko yaabwe nabyonna ebigenderako baleme okutwalaganyizibwa n’amayengo g’ensi. Okwogera bino abadde mu lukung’aana olutuumiddwa Decent Africa, nga luno lugendereddemu kusomesa bakyala butya bwebasobola okukuza obulungi omwana wa Africa.