Kankobe Children's Home: Balina abaana 11 abanoonya bazadde baabwe
Abaana 11 abanoonya ab'enganda zaabwe, nga bano bali mumaka ga Kankobe Children's Home. Abaana bano abamu baabula ku bazadde baabwe, ate nga abalala abagambibwa okuba ab'enganda zaabenyini bebabaddukako.
Amaka ga Kankobe Children's Home bagamba basanga okusoomozebwa naddala okwebikozesebwa. WanO webasinzidde okutandikawo essomero okulaba nga abaana bano nabo bafuna obuyigirize obwetaagisa.