Kanso ya KCCA egamba Loodi Meeya n'olukiiko lwe babeebalama
Kanso ya KCCA etegeezeza nga bwegenda okuwandiikira loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago agyinyonyole lwaki yeebalama entuula za kanso. Kati oluvanyuma lw’okugaana okubawa alipoota y’ekiteezi bategeezeza nga bwebagenda okwesitula beegendere e Kiteezi bamanye ekituufu ekyaliwo. Bano bagamba wandibaawo ekikwekebwa mu mbeera eno.