Katikkiro asabye Gav't okutaatira obutonde bw'ensi
Katikkiro wa Buganda owek. Charlse Peter Mayiga asabye gav’t okukendeeza ku bbeeyi y’amasanyalaze nga emu ku nkola y’okuyambako okutaatira obutonde bwe nsi gamba nga abantu okukomya okutema emiti okwokya amanda.
Era ono yennyamidde olw’abantu abeeyita bamusiga nsimbi ate abefunyiridde okusanyawo entobazi nga bazimbamu amakolero, ekitattanye obutonde bwensi.
Okwogera bino abadde Nyanga mu ssaza ly’e Kyagwe ku mikolo gy’okukuza olunaku lwa bulungi bwa nsi mu Buganda.