KCCA eri mu kusoberwa olw’abasuubuzi mu katale k’e Busega okuyingira akatale akapya mu kiro
Ekitongole ki KCCA kiri mu kusoberwa olw’engeri abasuubuzi mu katale k’e Busega gyebaayingiramu akatale akapya mu budde obw’ekiro. Okusinziira ku akola nga ssenkulu w’ekibuga Frank Rusa, byonna ebigenda mu maaso mu katale k’e Busega bikontana n'e tteeka erirungamya obutale mu Kampala li Market Act ne KCCA. Twogeddeko n’omukulu Abdullah Kitatta, agambibwa okuba emabega wa bino byonna, n’ategeeza nga ye bwakola ku lw’obulunji bw’abantu - ate bbo abakulembeze ba Divison y’e Lubaga bavumirira engeri Kitatta gyeyefuzeemu akatale n’atuuka n’okwagala okubatusaako obuzibu, nga bagezaako okulung’amya abasuubuzi.