Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu akalaatidde abazadde okukuumira eriiso ku baana baabwe
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Kazimba Mugalu akalaatidde abazadde okukuumira eriiso ku baana baabwe okumanya bebawangaala nabo, okubeewaza bannakigwanyizi ababayigiriza emize. Ssaabalabirizi ayagala gav’t eseewo enteekateeka eri abaana abasendebwasendebwa mu bikolwa ebikyamu gyebasobola okwekubira enduulu. Okwogera bino abadde awa bubaka bwe obwamazaalibwa ku lutikko e Namirembe.