Omubiri gwa Nelson Kawalya gutwalidwa ku woteeri ya Pope Paul okukubwako eriiso evvanyuma.
Olwaleero omubiri gw’omugezi eyaliko sipiika w’olukiiko lwa Buganga Nelson Kawalya gutwalidwa ku woteeri ya Pope Paul mu Ndeeba abantu ab’enjawulo okumukubako eriiso evvanyuma. Eno banna rotery batendereza emirimu gy’omugezi gyakoledde abantu naddala bannayuganda nga ayita mu kibiina kyabwe. Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa ono wakuziikibwa lunaku lw’enkya e Kiwanda mu munisipaali y’e Nansana.