Olutindo lwa Karuma luggyiddwako engalo, luzzeemu okuyisa mmotoka
Olwaleero olutindo lwe Karuma luguddwawo mu butongole oluvanyuma lw’okumala ebbanga nga lugaddwa.Kinajjukirwa nti luno lwaggalwa mu mwezi gwa September , era okudaabiriziibwa okw’akaasa meeme ne kutandika.Tukitegedde nti mu kusooka olutindo luno lwakuyisa mmotoka ezitali nzito nnyo naddala ezabasaabaze, okutuusa omwezi ogujja nga lukaze.