KCCA ekakasizza nga bw’efunye ekifo eky’enkalakkalira aw’okuyiwa kasasiro
Kyaddaaki abakulu mu KCCA bakakasizza nba bwe bafunye ekifo ekyenkalakkalira webagenda okuyiwa Kasasiro ayoolebwa mu Kibuga Kampala. Akulira KCCA ow'ekiseera Frank Rusa, agamba nti ekifo kino kisangibwa Buyala ku luguudo lwe Mityana era nga kiweza Yiika 200.
Bino bibadde ku kabaga akamalako omwaka aba KCCA kebategekedde abayonja ekibuga.