Museveni ayambalidde abakulembeze abawabya abatuuze
Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni munyikaavu eri abakulembeze mu bitundu by’e Bugisu baagamba nti baajemesa abantu okwamuka ebifo ebiri ku bitundu by’ensozi , n’abasanyaawo obutonde bwensi. Agambye nti ettaka erizze libumbulukuka neritta abantu liviira ddala ku nsobi ezizze zikolebwa abatuuze mu bitundu bino, okukakana ng’ettaka litendewaliddwa neribumbuluka. Kati ono agamba nti gavumenti yakose okusalawo okwenkomeredde, abantu bonna ababade bawangalira mu bitundu ebyobulabe basengulwe , okufa nga kuno kukome.