Bannyini galajji omwaggyiridde mmotoka basobeddwa
Abaddukanya Garage omwaggyiiridde mmotoka eziwera 14 mu muliro ogwabadde ku bbiri e Makerere olunaku lw'eggulo baagala gavumenti ebeeko engeri gyebakwatirako okuliyirira bannyini mmotoka ezaayidde. Bano batubuulidde nti byabasobedde dda kubanga Garage gye babadde baddukanya tebadde mu Yinsuwa. Abamu ku bammemba mu SACCO ebadde ekozesebwa okutereka ensimbi ezaavuddeko emberebezi nabo bali mu kusoberwa anti ensimbi ssaako n'omulimu gwe baabadde bakola byonna byaweddewo.