Abakulembeze b’e Lubaga benyamivu olwa kasasiro asusse obutayoolwa mu bantu
Abakulembeze b’e Ggombolola ya Lubaga benyamivu olwa kasasiro asusse obutayoolwa mu bantu - kati bagamba singa tewabeerawo kikolebwa abantu bandikwatibwa endwade eziva ku bukyafu. Bano basabye Ssaabaminisita Robina Nabbanja okuvaayo okuyingira mu nsonga z’okufunira Kampala ekifo ky’okuyiwamu kasasiro nga ekizimba tekinnasamba ddagala. Bino babyogere mu lutula lwa kanso eggalawo omwaka.