Kyagulanyi asabye bannayuganda okuwakanya ekiteeso eky’okugatta UCDA ku minisitule y'ebyobulimi
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye bannayuganda okusimbira ekkuuli ekiteeso eky’okugatta ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority ku minisitule y’eby’obulimi kuba kigendereddwamu kunafuya nyingiza ya bannansi. Kyagulanyi agamba singa abannayuganda tebefaako, kino kyandiviirako enyingiza yabwe okuseebengerera. Kati asabye ababaka ba palamenti okukwatagana n’abantu babulijjo okukiwakanya.