Minisita wa Kampala alambuzza ba musiga nsimbi e Kiteezi
Minisitwa wa Kampala Minsa Kabanda nga aliwamu n’abakugu okuva mu KCCA batandise okwekeneenya bamusiga nsimbi abagenda okugatta omutindo ku kasasiro w’e Kiteezi. Minisita agamba mukiseera kino tebagenda kuddamu kukkiriza kuyiwa kasasiro mu Kiteezi. Ono era aliko bamusiga nsimbi babadde alambuza kasasiro ono abavudde mu ggwanga lya Ghana ne Sweden.