Okumalawo ebbula ly'amazzi: E Kamuli aba NWSC baliko enteekateeka gyebatandise
Abantu b’e Kamuli bandiwona ekizibu ky’amazzi oluvanyuma lw’ekitongole ky’amazzi mu ggwanga ki National Water and Sewarage Coperation [NWSC] okukola ku nteekateeka y’okusasaanya amazzi mu disitulikiti eno.
Okusinziira ku kitongole kino kifunye ebikozesebwa obisobola okubunyisa amazzi mu kitundu ekisinga obunene mu Kamuli - wabula ekya beeyi y’amazzi bagamba esinziira ku beeyi y’amasanyalaze n’amafuta.