Omukulu w'essomero e Mityana asindikiddwa mu kkomera lwa kubulankanya ssente z’abayizi ba S.4
Eyali omukulu w’essomero li Bujubi SS e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana Joseph Lukwago asindikiddwa ku alimanda nga ono avunaanibwa okubulankanya ssente z’abayizi ba siniya ey’okuna. Ono abadde yadduka kyadaaki amaze n’akwatibwa n’asimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako John Osaulo e Mityana. Era n’abasomesa ababiri abakwatibwa ku bigambibwa nti baali bagezaako okubbira abayizi ebigezo bya S.4 nabo bakomezeddwawo mu kkooti yyemu. Bonna basabye okweyimirirwa wabula kkooti n’esuubiza okubawa ensala yaayo olunaku lw’enkya.