Ba kansala batabukidde kalaani wa kkanso e Kassanda nga bamulanga kukola mirimu gadibengalye
Wabadewo okukubagana empawa mulutula lwa kanso ya disitulikiti y’e Kassanda bakansala abamu abanaabidde kalaani wa kanso mu maaso nga bamulanga kukola mirimu gadibengalye. Bano mulutuula luno basabye akulira abakozi ku disitulikiti eno okubakyusiza kalaani wa kanso ono babaleteremu omulala. Mu lukiiko luno era waliwo alipoota esomedwa kubigambibwa nti disitulikiti esolooza sente z’okuwandiisa abayizi abagenda okutuula ekibiina eky’omusanvu ensimbi eziri wakati wa 45000 - 117000 ekintu ekikontana n’amateeka ga UNEB ekiviiriddeko abaana abamu okulemererwa okwewandiisa okukola ebigezo bino.