Ab'e Nakasongola bali mukutya oluvanyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya kawaali
Abatuuze b’e Lwampanga mu disitulikiti y’e Nakasongola n’egyebuli eno bakyali mukutya oluvanyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya kawaali w’enkima oba M-Pox mu kitundu kyabwe. Kati abantu 41 bebakazulibwamu ekirwadde kino e Nakasongola, 18 ku bbo bava mu town council y’e Lwampanga. Kati emirimu egisinga gisanyaladde mu kitundu kino kubanga bangi batya okugendayo nga n’abavubi bakoseddwa byansusso.