Obwakabaka butongozza kaweefube wa 'Tubeere Balamu' okutumbula eby’obulamu
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II nga ayita mu kitongole kye ekya Kabaka Foundation batongozza enteekateeka etuumiddwa Tubeere Balamu egendereddwamu okutumbula eby’obulamu by’abantu be nga bakeberebwa n'okufuna obujjanjabi ku ndwadde ezitali zimu okuyita mu Nsiisira z’eby’obulamu. Enteekateeka eno etongozeddwa mu Bulange e Mengo nga yakuyindira mu masaza gonna ag’obwakabaka bwa Buganda nga evujjiriddwa ab’eddwaliro lya AGA KHAN.