Red Cross edduukiridde abaayokebwa omuliro e Kamwokya
Ab’ekitongole ki Red Cross badduukiridde abantu abaakosebwa omuliro ku Lw'okutaano lwa sabiiti ewedde e Kamwokya omwafiira omuntu omu. Bano babaduukiridde n’ebintu ebikozesebwa mu mbeera ez’abulijjo - KCCA ekiikiriddwa loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago n’ow’ekikula ky’abantu mu KCCA Sheila Birungi.