Ekizimbe ki Nyumba-kubwa kiyidde, abasuubuzi bali mu maziga
Abasuubuzi abakolera ku Arua Park bali mu maziga oluvannyuma lw'emmaali yaabwe okutomokera mu muliro ogukutte ekizimbe ekiytibwa Nyuma-Kubwa. Ekizimbe kino kibaddeko amadduuka g'engoye, ebyamasannyalaze, battery ne kalonda omulala mungi nga bino byonna bitokomokedde mu muliro ogutandise mu ttuntu lyolwalero.Poliisi etandise okunoonyereza ekivuddeko omuliro guno ogututte essaawa eziwera okuzikiza.