Okuggyawo akakalu ka poliisi; ababaka baanukudde Museveni, balabudde ku biyinza okuddirira
Abamu ku babaka ba palamenti balaze obweraliikirivu nti singa ekiragiro kya Museveni okuggyawo akakalu kimala n'ekissibwa mu nkola kyakwongera ku mujjuzo mu buduukulu bwa Poliisi n'amakomera g'egwanga okutwaliza awamu. Bano batuuse n'okulumiriza gavumenti okujjawo ssente palamenti zeyali etadde mumbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno ezaali zigendereddwamu okuyamba Poliisi mu kunoonyereza kinoonyereza ku misango. Juma Kiirya olwaleero ayogeddeko n’ababaka ba palamenti kunsonga, y’omukulembeze weggwanga okulagira nti akakalu ka poliisi okuvaawo ku misango egy’obubbi n’emirala.