Nadduli ayagala Museveni akole gav’t eyekintabuli
Omuwabuzi w’omukulembeze w’eggwanga ku nsonga za Buganda era eyaliko minisita Catalina kifo kyankalakalira Al-Hajji Abdul Nadduli ayagala ssemateeka we ggwanga akyusibwemu President Museveni akole government ey’ekintabuli n’abamuvuganya. Nadduli agamba nti akooye okulaba omusaayi oguyiika n’abantu okubonyabonyezebwa olw’eby’obufuzi naddala abavuganya President Museveni nga yensonga lwaki alowooza nti government y’ekintabuli eyinza okumalawo embeera eno. Nadduli awayizaamu n’omusassi waffe Herbert Kamoga era bino by’atugiddeyo.