Amayumba agasukka mu 200 e Karamoja gayidde, Redcross ebadduukiridde
Ekitongole ki Red Cross kiddukiridde abatuuze mu bitundu bye Karamoja abaakoseddwa omuliro ogwakutte era negusaanyaawo amayumba agasukka mu bibiri mu disitulikiti ezisukka mu ssatu. Omuliro guno ogwamaze ennaku nga ssatu nga gutinta gwava ku bavubuka abayigga emmese mu kitundu kino wabula negusajjulwa embeera y’obudde mu kitundu kino.