Abaana mu birombe; e Busia bangi bagendayo lwa mbeera y’obwavu
Okusinziira ku mateeka ga uganda naddala eteeka ly’abakozi,omwana atanaweza myaka 18 takkirizibwa kukola mirimu gya kukakalukana , naddala nga ekigendererwa kwenonyeza nusu. Kyoka olw’obwavu obuyonka abantu obutaaba, kizuuse ng’abaana bangi bakeera kukola mirimu egyitagya mu myaka gyabwe. Kati leero katulabe emboozi y’abaana abenyigira mu mulimu gw’okusima zaabu mu birombe by’e Tiira mu district y’e Busia.