Gav’t esaze ebisale by'amasanyalaze; abalina bizineesi entonotono basanyufu
Gavumenti ng’eyita mukitongole kyayo ekivunaanyizbwa ku kubunyisa amasannyalaze esaze ki Uganda ku miwendo egisasulirwa amasannyalaze nga kino kigenda kumala ebbanga lya myeezi esatu ku mwaka guno 2025. Okusinziira ku Dr. Sarah Kanaabi Wasagali akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamye eby’amasannyalaze ki Electricity Regulatory Authority gavumenti yaakuddamu okugereka amasannyalaze gano nga contract y’ekitongole ki UMEME ng’eweddeko mu mwezi gw’okusatu omwaka guno. Minsita avunaanyibwa ku masannyalaze n’ebyobugagga eby’omuttaka Ruth Nankabirwa agamba nti 2030 wanaatuukira gavumenti eyagala okulaba ng'amasannyalaze gabubye ebitundu ’eggwanga byonna.