Kkooti egobye omusango gwa banna NUP ababuzibwawo
Bannakibiina ki National Unity Platform baweze nga bwebagenda okweyongerayo mu kkooti za waggulu ku bantu baabwe abazze nga babuzibwawo okuva mu mwaka gwa 2019 nga n’okutuusa kati tebamanyiddwako mayitire. Kino kiddiridde kkooti okugoba omusango ab’enganda z’abantu abawambibwa gwebaloopa nga baagala kkooti ekake gavumenti okuleeta abantu baabwe oba abalamu oba bafu. Kati bano bagamba baakukozesa amakubo gonna okulaba nga abantu baabwe bamanyibwako amayitire.