Omukyala atutte bba ku poliisi lwa ku mutwala kujjamu lubuto lweyafuna mu musajja omulala
Omukyala atutte bba ku Poliisi y’e Gayaza nga amulanga ku mutwala mu ddwaliro ajjemu olubuto lweyafunye mu musajja omulala. Promise Akankunda yafunira olubuto mu maka ga bba, ekyawaliriza bba okumutwala balujjemu omukazi kyatakkiriza kwekwekubira enduulu mu b’obuyinza. wadde nga omukazi yatutte bba ku poliisi ate nga n’olubuto sirulwe akyalambidde mu maka g’omusajja ab’oluganda lw’omusajja kyebawakanya. Poliisi egamba egenda okukwata omusajja ono abadde atiisatiisa okutuusa obulabe ku mukazi.