Ow'emyaka 12 eyasobezebwako atikiddwa
Waliwo omuwala ow’emyaka 12 e Mityana eyasobezebwako ow’oluganda n’amufunisa olubuto. Mukama yamuyamba ono n’atwalibwa ku ttendekero li St. Tereeza vocational training institute e Zigoti gyakugukidde mu kutunga. Mukiseera kino ono asaba bazira kisa bamuduukirire n’ekyalaani asobole okwebezaawo n’omwana we. Abayizi abalala abasoba mu 300 bebatiddwa mu ttendekero lino.