Empaka z’okuwuga: ttiimu ya Uganda eyolekedde Rwanda
Abawuzi 49 ab'emyaka egy'enjawulo be boolekedde eggwanga lya Rwanda olunaku olwaleero okwetaba mu mpaka z'okuwuga eziyitibwa Africa Aquatics Zone three Championships. Bano bafunye okutendekebwa okusembayo amakya ga leero olwo ne basiibulwa sentebe w'akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga Ambrose Tashobya mu butongole.