LIIGI Y’ABAKYALA: Kawempe muslims yeetisse ekikopo
Ttiimu ya Kawempe Muslim Ladies ekubye Kampala Queens ggoolo 2-0 mu mupiira ogukomekkerezza liigi y'abakyala abazannya omupiira gw'ebigere, FUFA Women Super League bw'ebatyo ne basituukira mu kikopo kino Ggoolo eziyambye Kawempe okutuuka ku kkula lino ziteebeddwa abazannyi, Agnes Nabukenya ne Allen Nassaazi. Oluvannyuma lw'obuwanguzi buno, Kawempe kati yaakukiikirira Uganda mu mpaka z'okusunsulamu abazannya champions league w'abakyala ku lukalu lwa Africa.