Yiino emboozi ya Nabulime, kapiteeni wa Kawempe Muslim
Olwaleero mu byemizannyo tutunuridde mwana muwala Phiona Nabulime asamba omupiira gw’ebigere mu ttimu ya Kawempe Muslim Ladies.Ono y’emuduumizi wa ttimu eno eyagitusiziza ku buwanguzi bw’ekikopo kya liigi y’eggwanga ey’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere emanyiddwa nga Finance Trust WomenSuper League kye baali bamazze emyaka mukaaga nga bakikonga lusu.