Akulira oludda Oluvuganya gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi avumiridde enneeyisa y’ebitongole by’ebyokwerinda okukwata abawagizi ba NUP mungeri y’okubavumbagira ate ng’eggwanga lirimu amateeka agalungamya engeri abateeberezebwa okuba abazzi b’emisango gyebalina okukwatibwamu.Ssenyonyi agamba nti ab’ebyokwerinda tebalina nsonga nambulukufu gyebawa okukwata abantu baabwe mungeri y’okubawamba n’okubabuzaawo.Kino akyesigamizza kukwatibwa kw’amyuka Omwogezi Wa NUP Alex Waiswa Mufumbiro bamukwata mmundu abamuvumbagidde emisana ga leero mu bitundu eby’e Kanyanya wano mu Kampala.