Palamenti olwaleero esiimye abazannyi ba ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes eyazannya mu kikopo ky’abazanyira mu liigi z’ewaka ekya CHAN 2024 Uganda mweyatuukira ku luzannya oluddirira olw’akamaliririzo. Palamenti esinzidde wano n’eyisa ekiteeso ekya gavumenti okutandika okuvugirira club z’omupiira ezizanyira mu liigi ya Uganda, nga bagamba nti zino zikola kinene okubangula abazannyi abeesogga tiimu ye ggwanga. Mungeri y’emu kikasiddwa nga ensimbi obuwumbi obubiri mu obukadde bibiri gavumenti zeyasuubiza abazannyi ba Cranes olw’obuwanguzi bwebatuukako nti zatuuka dda ku akaawunti zaabwe.