Mu kalulu ka 2026, ekibiina ki NRM kimalirivu nti wakiri okuluma ku lwazi lw’e Namuganga, naye balina okukola ekisoboka okulaba nga bawangula ebifo ebiwerako ku mutendera gw’ababaka ba palamenti mu Buganda nga nè ssentebe waabwe Yoweri Museveni ajja kuseereza ligenda mũgga ku kifo ky’omukulembeze. Bano bagamba nti bakoze bingi okuzza obw’abagazi bw’abantu mu kitundu kya Buganda abaali babakyaye ekisusse era nebakibalagira mu kalulu ka 2021. Tubaddeko mu mboozi ey’akafubo n’abadde omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi n’atukakasa nti buli ekyanyiiza abantu ba Buganda luli, ku luno bakomyewo bakiterezeezza, ng’okubamma akalulu, banaaba bakigenderedde-bugenderezi.