Akakiiko k’ebyokulonda akeggwanga kagamba nti kakuvunaana bannabyabufuzi abeenyigira mu kumenya amateeka g’ebyokulonda mu kiseera kino ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2026. Akulira Akakiiko kano Simon Byabakama agamba nti bannabyabufuzi bangi abeenyigidde mu kumenya amateeka g’ebyokulonda nga n’okugulirira abalonzi mw’okutwalidde Ono agamba nti baakafuna emisango 15 egyekuusa ku kumenya amateeka g’ebyokulonda.