Leero luyingidde olunaku olw’okubiri ng’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala kasunsula abeegwanyiza obukulembeze ku muntendera gwa gavumenti ez’ebitundu omuli amagombolola ne municipaali. Mu bamu ku basunsuddwa kubaddeko Ali Buken oba Nubian Li ku kya meeya wa Nakawa , Bosco Lusagala okuva e Makindye Nga bano bajigidde ku kadi ya NUP. Kyokka ye Nubian Li olubadde okumaliriza okusunsulwa, polisi nemukwatirawo nemuvuga nemuzza ewuwe.