Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi ssentamu agumizza bannankyukakyuka ku kiwamba bantu ekyeyongedde ensangi zino, nga agamba nti tebalina kuva ku mulamwa kuba bonna tebayinza kubawamba kubamalawo.Kyagulanyi agamba nti kakano ebikolebwa gavumenti bigenderedwamu kubanafuya, kubatisatiisa na kubajja ku mulamwa, kyoka kino tekigenda kubalobera kulwanirira nkyukakyuka nga bayita mu mateeka.Bino abyogeredde Nkoowe mu Wakiso mu kuziika taata w’omubaka Betty Nambooze eyafudde gyebuvuddeko.