Omubaka w’essaza ly’e Nakasongola Noah Mutebi Wanzala eyawangulwa mu kamyuufu ka NRM agamba nti wakuddamu okwesimbawo ku bwannamunigina mu kalulu ka bonna aka 2026 oluvannyuma lw’obutamatira n’ebyasaliddwawo akakiiko ka NRM akassibwawo okutawulula enkaayana. Akakiiko kano kakasizza obuwanguzi bwa Stephen Kiberondwa Bugingo ku ky’okukwatira NRM bendera, wabula Wanzala agamba nti akakiiko kano ssi keekasembayo era wakudda mu bantu abasabe obuwagizi. Kyokka Bugingo amusabye okumudda mu mugongo kubanga naye bweyamuwangula mu 2020 yamudda mu mugongo nasobola okuwangula mu 2021.