Ayogerera amagye g’eggwanga Maj. Gen. Felix Kulaigye atubuulidde ekikyalwiisiza abaana b’omugenzi John Patrick Gumananye eyali munnamaggye okufuna akasiimo ka kitaabwe, nga kino kiddiridde bano okuvaayo gyebuvuddeko nebeekubira enduulu. Kulaigye atugambye nti abaana bano waliwo ebiwandiiko bye baasabwa, okuli n’amannya ga banyaabwe, kyokka nakati tebabireetanga, kale nga kyandiba nga kyekikandaakiriza okusakulwa kwabwe. Kati ono abawadde amagezi okukola ku buli kiwandiiko ekyabasabwa ensonga zaabwe ziggwe.