Akakiiko k’ebyokulonda kakasizza ebyava mu bukiiko obw’emirundi esatu obwatuula mu disitulikiti y’e Bukedea okuwanduukulula amannya g’abakyala basatu abeegwanyiza eky’omubaka omukyala owa district eyo nga kalumiriza nti bano ssi balonzi beeyo.
Waliwo omulonzi okuwa e Bukedea eyo eyeekubira enduulu mu akakiiko k’ebyokulonda ku mannya g’abakyala bano nga alumiriza nti tabalabangako ku nkalala z’abalonzi.
Abakyala bano kuliko Suzan Norma owa FDC ne Marion Alupo owa NUP ne Hellen Akol Odeke. Alupo ne Norma batubuulidde nti wandibaawo kiremya okuvuganya sipiika wa palamenti Anita Among era nga baagala bongerwe akadde nabo okutekamu okwewozaako kwabwe.