Poliisi kko n’akakiiko k’eby’okulonda batubuulidde nga bwebagenda okukangula ku ddoboozi eri abeegwanyiza obukulembeze bw’e ggwanga abakyayisa ebivvulu mu makubo, kyokka nga baalabulwa dda okukikomya. Bano bagamba nti omuze guno gutataaganya emirimu gy’abalala, kale singa tegukoma poliisi egenda kweyambisa obukugu bwayo okugukomya. Bino bituukiddwako mu nsisinkano y’abakwanaganya kakuyege w’abegwanyiza obwa Pulezidenti, akakiiko k’eby’okulonda kko ne poliisi ebadde egendereddwamu okukuba ttooki mu kakuyege bw’atambudde mu bbanga ery’omwezi ogumu.
Ab’eby’okulonda bambalidde abavuganya abayisa ebivvulu
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
