Akakiiko k’eby’okulonda katandise okuwuliriza okwemulugunya kw’abatasunsulwa

Olive Nabiryo
0 Min Read

Akakiiko k’eby’okulonda olwaleero katandiise okuwuliriza okwemulugunya okwava mu kusunsula abeegwanyiza obubaka bwa palamenti okwetoloola eggwanga.

 Okusinziira ku kakiiko, emisango egyisoba mu 50 gyegigenda okuwulirwa nga akakiiko tekanakubisa bukonge bw’ababaka ba Palamenti.

Abamu ku balabiseeko eri akakiiko kano kwekuli Muhammed Mwaka alumiriza nti yalemesebwa okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Budiope East okukakkana nga Moses Magogo ayiseewo nga tavuganyiziddwa.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *