Akakiiko K’eby’okulonda kasambazze ebigambibwa nti kaliko bekaalemesezza okusunsulwa ku ky’omukulembeze w’eggwanga mu bugenderevu, ne kategeeza nti abo bonna abaasuliddwa ebbali baalemereddwa okufuna emikono egyataagibwa okuvuganya ku kifo kino. Mu kadde kano akakiiko kali mu kubaga ennambika, enaagobererwa abeesibyewo nga bewenja akalulu okwetoolola eggwanga