Omulundi ogusookedde ddala okuva mu mwaka 2001, akakonge k’abanavuganya ku bwa president mu kalulu ka 2026 tekugenda kubeera mukyala yenna. Kino kireseewo ebibuuzo oba nga ddala abakazi omwenkanonkano gwe balwanirira mu byobufuzi bayinza okugutuukako ku mitendera egy’awaggulu. Abakazi basatu abagezezzaako okutuukiriza ebisaanyizo by’akakiiko k’eby’okulonda baalemereddwa era nga nabo beekwasa nti gavumenti ekoze kitono okubawa omwagaanya guno. Katunnyikire ensonga eno bulungi.