Abakolera mu maduuka g’omukibuga Kampala okuliraana n’omwala gw’e Nakivubo enkuba y’olwaleero bebagiwuliddemu, bw’ereese omujjuzo mu maduuka gaabwe emirimu gyonna negitataagana.
Omwala guno mu kiseera kino guli mu kuzimbibwako waggulu nga kino kikolebwa musiga-nsimbi Hamis Kiggundu.
Abamu ku basubuuzi, emmaali yaabwe ekoseddwa era nga basigadde mu kwemagaza n’okwebuuza ani anabadduukirira.