Ab’oluganda lw’omusajja Amos Rwengomani eyabuzibwawo abateeberezebwa okubeera abakuuma ddemba baagala babuulirwe omuntu waabwe gyali, n’emisango egyimuvunaanwa gyimanyike. Omusajja ono yawambibwa nga 14th omwezi oguwedde e Mulago, kyokka okuva olwo mpaawo ababuulira yamukwata. Ku mbeera eno Gen Kahinda Otafiire minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga kwasinzidde n’alabula abali mu buyinza obutafuuka ba kyesirikidde nga enfuga ey’amateeka emettebwa ettoomi.