Ssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owiny Dolo asambaze ebyogerwa ng’essiga eddamuzi bwerikolera ku biragiro by’omuntu, ekiweebudde ekitiibwa ky’ekitongole kyonna. Ssaabalamuzi agamba nti kino kifaananyi ekigezaako okusiigibwa bannamateeka abawolerereza bannabyabufuzi kyokka nga nabo buvunaanyizibwa bwabwe okukuuma ekitiibwa ky’essiga eddamuzi nabo mwebakolera. Bibadde mu lukung’aana lw’okujjukira n’okwefumitiriza ku bulamu bweyali ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka olubadde ku kitebe kya kkooti enkulu.