Bannakibiina ki NUP l’eero basiibye basolooza mikono okuva mu bawagizi baabwe okusobola okutuukiriza obukwakuliza obwetaagisa okusobozesa abakwatidde bendera ku ky’omukulembeze w’eggwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu okusunsulwa. Kyategeerekese ng’emikono gy’abano okuva mu disitulikiti 18 bwe gikyaliko akabuuza.Olwaleero bannakibiina okuva mu disitulikiti ewagambibwa nti tewafuniddwa mikono gimala baakedde kweyiwa ku kite kudamu kuwaayo mikono mirala okusobozesa omuntu wabwe okusunsulwa.